Kasalabecca

Omuyimbi King Saha atongozza essimu ye

EMYEZI 3 emabega, omuyimbi King Saha yakutula ddiiru ne kkampuni emu ekola amasimu e China emukolere essimu gye yatuuma ‘King’. Eno yagitongozza ku Mmande ku bbaala ye e Nkumba wakati mu nduulu n’emizira.

King Saha n’essimu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EMYEZI 3 emabega, omuyimbi King Saha yakutula ddiiru ne kkampuni emu ekola amasimu e China emukolere essimu gye yatuuma ‘King’. Eno yagitongozza ku Mmande ku bbaala ye e Nkumba wakati mu nduulu n’emizira.

Egwa mu kika kino ekya ‘seereza’ era yaakukolebwa mu kiraasi ez’enjawulo nga baasoose ne ‘S1’ ng’eriko ekifaananyi kya King Saha. Wakati mu doola okwekanama, essimu eno yasaliddwaako n’edda ku doola 100.

Omuyimbi Jose Chameleone era nga ye musomesa wa Saha mu ndongo, ye yasooka okuleeta amasimu agayitibwa ‘Chameleone Phones’ wadde nga tegaalwa ennyo ku katale.

Tags: