Kasalabecca

Eriiso liremesezza Chamilli okuyimba

JOSE Chameleon eyabadde apangisiddwa okuyimba ku bbaala eya Cloud 9 e Mbale talabiseeko, n’abakuba ebirango ku ssaawa esembayo. Wabula era abadigize baamubanjizza, ne bakkakkana oluvannyuma nga balabyemu Pallaso.

Jose Chameleon
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

JOSE Chameleon eyabadde apangisiddwa okuyimba ku bbaala eya Cloud 9 e Mbale talabiseeko, n’abakuba ebirango ku ssaawa esembayo.

Wabula era abadigize baamubanjizza, ne bakkakkana oluvannyuma nga balabyemu Pallaso.

Ge tufuna okuva mu nkambi ya Leone Island, ekibiina kya Chameleone galaga nti yabadde agenze kumwekebejja eriiso eryalongoosebwa gye buvuddeko. 

Wadde abawagizi abamu baamusaaside, naye abalala baasigadde tebamatidde nga bagamba baamulabyeko ku bbaala emu e Sseguku ng’ayimba ne Bandi kyokka e Mbale n’atalabikako

Tags: