ABAWAGIZI b’omuyimbi Sheebah Karungi bamusabye akyuse mu nkola ya vidiyo z’ennyimba z’afulumya ensangi zino.
Abawagizi bano, beeyita ba ‘Sheebaholics’, abeemulugunya nti omuyimbi waabwe tebakyamutegeera bukya ava mu luwummula lw’okuzaala e Canada. Mbu kati vidiyo z’ennyimba z’afulumya ensangi zino, zifaanagana ne beebuuza nti obuyiiya bwe yalina bw’adda wa? Baatuuse n’okumusaba akyuse ku dayirekita waazo.