Kasalabecca

Doreen ayimbye atenda ekisa kya Katonda

MWANAMUWALA Doreen Pof, ayimba ennyimba eziryowa emitima n’okubudaabuda abaweddemu essuubi, musanyufu olw’oluyimba lwe olupya olwa ‘Nninga aloota’ okunyumira abagoberezi b’ennyimba z’eddiini.

Doreen Pof
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MWANAMUWALA Doreen Pof, ayimba ennyimba eziryowa emitima n’okubudaabuda abaweddemu essuubi, musanyufu olw’oluyimba lwe olupya olwa ‘Nninga aloota’ okunyumira abagoberezi b’ennyimba z’eddiini.

Doreen nga ag’obuzaale ye Doreen Niwasiima enzaalwa y’e Ntugamo, ayimbira mu kibiina kya Promote Gospel Vybes ekya Neithan Tumuwaiti.

Oluyimba ‘Nninga Aloota’ mulimu ebigambo by’Oluzungu n’Oluganda era alina essuubi nti obubaka bwe yayimbyeko bwakutuuka eri abo abaweddemu obwesige baddemu okwesiga Yesu. Agamba nti okuyimba oluyimba luno, yalabisibwa mu kirooto ekitabo kya Zabuli 26:1-2, ng’obubaka obululimu buva mu kyawandiikibwa kino.

Ono yatandika mu 2020 obuweereza bwe ng’ayita mu nnyimba. Azze akola ennyimba ez’enjawulo okuli: By Fire, Second Chance, Say Yes, Waapi, Obisinga n’endala.

Tags: