Kasalabecca

Ronnie Banton atikkiddwa mu America

OMUYIMBI Ronnie Banton Tomusange, ayongeddeko ku bitabo bye yasoma e Ugandaera ne bamutikkira mu Amerika gy’awangaalira kati.

Ronnie Banton
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUYIMBI Ronnie Banton Tomusange, ayongeddeko ku bitabo bye yasoma e Uganda
era ne bamutikkira mu Amerika gy’awangaalira kati.

Ronnie Banton eyayimba oluyimba lwa ‘Kawuna, gw’okwata y’akalina’ ne lucaaka
nnyo mu myaka gy’e 2000, yatikkiddwa mu ttendekero lya Harmony Healthcare Institute,
NH erisangibwa mu Huston Texas mu America.
Okufaananako munne omuyimbi Gen. Mega Dee, naye yakuguse mu kujjanjaba kwossa
n’okulabirira abateesobola oba kiyite obusawo. Mu bigambo bye, yeebazizza muyimbi munne Gen. Mega Dee okumutemera ekkubo ly’okuddayo okusoma obusawo. Ronnie Banton, yayitidde waggulu era y’omu ku baasinze okusoma obulungi mu ttendekero
eryo, mu kiraasi yaabwe.

Tags: