OMUYIMBI Mesach Ssemakula akyalojja okusojjebwa kwe yayitamu ng’atandika okuyimba. Anyumya nti bwe yali yaakatandika, yalwala okugulu ne kuzimba mu 2006 mbu abantu abamu ne batandika okumusibako ekirwadde.
Nti kino kyamwennyisa omutima kuba yafuna okusosolebwa okuva mu bantu, abaalowooza nti ebyali byogerwa bituufu.
Mesarch, eyabadde akyaziddwa ku I&M bank okunyumya ku lugendo lwe mu ndongo, yategeezezza nti ebiseera ebyo, okukusibako ekirwadde ekikambwe, kyali kya ntiisa kuba obulwadde obwo bwali waggulu nnyo era nga butiika.
Yategeezezza nti kino kyamuwaliriza n’okuwandiika oluyimba lwa ‘Tulaba bingi’ nga ky’ava ku kusoomoozebwa kwe yali ayitamu mu biseera ebyo.
Yayongeddeko nti bwe yali atandika okuyimba, kitaawe yamunyiigira nnyo ng’akiraba ng’omwana we eyali alaluse.
Ng’aweza emyaka 50 egy’obukulu, agamba nti ebyo bye bimu ku bintu by’atayinza kwerabira mu bulamu bwe, by’ayiseemu mu kisaawe ky’okuyimba.