BANNABAWALA 22 okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo be baasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’Obwannalulungi bwa Uganda obw’omwaka guno.
Bano baalagiddwa ensi ku Lwokutaano era omu kw’omu, bakira bavaayo okulaga kye balinawo wakati mu nduulu okuva mu b’ehhanda zaabwe abaabaddewo. Ku mukolo guno era, balaze abawala abanywa mu bannaabwe akendo mu bitundu by’eggwanga 5.