KING Saha talabiseeko e Kyengera ku kivvulu, omutegesi n’acwana. Saha abadde amaze ennaku nga mulwadde era yalabwako ku kivvulu ekimu e Bulenga nga yeegayirira abawagizi bamute ave ku siteegi nga teyeewulira bulungi.
Kigambibwa nti mu kuziika omugenzi Moses Matovu, Saha enkuba yamukuba n’aggyamu bulwadde. Omutegesi w’ekivvulu kino amanyiddwa nga Omukunja Atasera, yacwanye n’agamba nti Saha teyabadde mulwadde wabula yabadde azannya bubadi bwe.