Anita Fabiola kati ayitibwa Nnaalongo!
Jun 16, 2025
ANITAH Fabiola kati Nnaalongo Fabiola, ye muwala eyakwata ekyokubiri mu mpaka za Miss Uganda mu 2013 era yatuukirizza bye yasuubizza bba Mark Ronald nti waakumuzaalira abalongo.
By Musa Ssemwanga
Journalist @New Vision
ANITAH Fabiola kati Nnaalongo Fabiola, ye muwala eyakwata ekyokubiri mu mpaka za Miss Uganda mu 2013 era yatuukirizza bye yasuubizza bba Mark Ronald nti waakumuzaalira abalongo.
Bwe baali ku mukolo gw’okumwanjula mu 2023 e Lweza ku lw’e Ntebe, Fabiola yasuubiza bba nga bw’ajja okumuwa ekitiibwa ky’Obwassaalongo nga naye bwe yali akimuwadde ng’ajja mu bazadde be n’agattako okumuwa ekirabo kya mmotoka.
Fabiola yasumulukuse Lwakutaano mu ddwaaliro e Nakasero nga yazadde omuwala n’omulenzi.
Related Articles
No Comment