Bebe atabukidde aboogerera olutambi lw'ennyimba lwe yafulumya
Jun 17, 2025
BEBE COOL atabukidde aboogerera olutambi lw’ennyimba lwe yafulumizza olwa Break the Chains.
By Musa Ssemwanga
Journalist @New Vision
BEBE COOL atabukidde aboogerera olutambi lw’ennyimba lwe yafulumizza olwa Break the Chains.
Okuva olutambi lw’ennyimba luno bwe lwafuluma abantu ab’enjawulo bazze baluwaako endowooza zaabwe ng’abamu bagamba nti omuyimbi naye tamanyi baani be yayimbidde ate abalala nti tannakola kimala kulutunda mu bantu ate abandi nti ssi lwa Bannayuganda kuwuliriza.
Omu ku bayogeredde Bebe Cool ye James Propa ng’ono aludde mu kisaawe ky’okuyimba, yagambye nti Bebe yafulumizza olutambi lw’ennyimba luno ng’abala katale k’ebweru kyokka nti tannatambula kugenda mu nsi yonna kulutunda.
Bebe mu kumwanukula yeewuunyizza nnyo omuntu gwe yayogerako naye nga tannafulumya lutambi luno ate okuvaayo okukola yintaaviyu ng’amwogerera mu kifo ky’okumukubira essimu n’abimugamba.
No Comment