ABATEGESI b’ebivvulu, baakiguddeko e Gulu gye baagenda ku Lwomukaaga okusisinkana Gen. Salim Saleh bamukaabire ennaku yaabwe alabe bw’abayisa mu mbeera.
Baasooka kwekalakaasa ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde we baalumbira minisitule y’ekikula ky’abantu nga baagala okusisinkana minisita gwe bataalaba.
Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex agamba nti e Gulu baagenze nga basoba mu 200 era baalinze ku ggeeti okumala essaawa nga munaana nga wano Gen. Saleh we yabagambidde beerondemu abantu babiri bayingire bamulabe era ye ne Musa Kavuma amannyiddwa nga KT ne bayingira.
Mbu yabadde mukambwe gye bali ng’agamba nti talina gwe yayita kugendayo era n’abagamba badde e Kampala abamu ne baguguba kwe kusindika amagye ne gabakolako nga gabalagira okudda gye baavudde.