Derrick Dungu amanyiddwa nga Rickman CAF emuwadde ekyeyo.
Ono y’omu ku baweereddwa omulimu gw’okukwata obutambi ku mipiira egigenda mu maaso e Namboole.
Rickman bw'afaanana.
Omulimu gwa Rickman gwakulaba ng'akwata ebigenda mu maaso ku ekisaawe olwo ne biwanikibwa ku mutimbagano
Abamu tebeewunyizza okulaba nga y’omu ku baweereddwa omulimu guno olw'ensonga azze akyogera lwatu nga bw'ayagala ennyo omuzannyo gw’omupiira.