OKUSIKA omuguwa wakati w’ebibinja by’Abasikawuti kwongedde okulinnya enkandago, ekimu ku bibinja bwe kiwandiikidde minisitule y’ebyenjigiriza
nga kiyimiriza olukung’aana lw’abasikawutu.
Ab’ekibiina kya The Uganda Boy Scouts Association nga bakulembeddwaamu Ssentebe w’okuliiko olufuzi olw’oku ntikko, Canon Patrick Mujuni Baruhagare mu kiwandiiko kye yawandiikidde omuwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule y’ebyenjigiriza ne
Minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni baayimirizza olukung’aana lw’Abasikawutu bonna olubadde olw’okubeerawo wakati wa 22 ne 28 omwezi guno e Kaazi. Baruhagare yategeezezza nti, olukiiko luno terusobola kugenda mu maaso nga waliwo emisango egigenda mu maaso mu kkooti etaawuluza enkaayana z’ebyettaka wakati wa Kabaka wa Buganda n’ekitongole kya Buganda Land Board gwe baawaabira minisita omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja n’abalala.
Amyuka kaminsona avunaanyizibwa ku basikawutu mu kibiina kya Uganda Boy Scouts Association, Alex Mujuni agamba nti, aba Uganda Scouts Association tebalina buyinza buyita lukung’aana luno kuba tebamanyiddwa mu mateeka. Canon. Baruhagare ne bammemba b’olukiiko olufuzi olw’oku ntikko basinzidde mu lukung’aana lwa Bannamawulire e Kaazi ku Ssande ne bategeeza ng’akabinja akeeyita ak’abakulembeze
b’abasikawutu bwe katamanyiddwa mu mateeka nga byonna bye bakola babikola mu bukyamu. Yayongeddeko nti,ekibiina kya Uganda Boy Scouts Association kye kimanyiddwa ku mutendera gw’ensi yonna n’asaba abakungu ba Gavumenti naddala minisitule y’ebyenjigiriza okuvaayo mu bwangu ku nsonga eno kwewala bannakigwanyizi ne Bamafia abaagala okusaanyaawo obusikawutu. Ku nkaayana z’ettaka ezigenda mu maaso ono agamba nti, ettaka ino lyabaweebwa Ssekabaka Daud Chwa era mu kiraamo kye yalambika nti, baggyangako yiika 20 ne baziwa aba ffamire ye ekintu ekyakolebwa. Ng’omulangira Joseph Jjuuko Kiyimba yakkaatiriza ensonga eno n’ategeeza nga bo bwe batalina kye babanja basikawutu. Yagambye nti, omugabo gwabwe nga bwe kirambikiddwa mu kiraamu kya Ssekabaka Daudi Chwa gwabaweebwa.
Ettaka lyonna erigulumbya Abasikawutu liwezaako yiika 120 nga lisangibwa kum bbulooko 273 plot 5 Busaabala Kyaddondo. Dr. John Mugisha yagambye nti, tewali ttaka ly’Abasikawutu lyali litundiddwa n’agamba nti, n’ezikimbe ekigambibwa nti, kya mugagga omu kyabwe ng’Abasikawutu kyokka olw’okuba baali tebalina ssente baasalawo okuggyako yiika 30 ne baziwa bamusigansimbi ku nkola ya liizi. Ekizimbe kino kya kubeerako ofiisi, ekifo awateesezebwa n’ebirala. Kaminsona Alice Nyiramahoro gwe balumiriza okuwabya Abasikawutu n’abakulembeze balala yategeezezza nti, kyewuunyisa okulaba ababadde bakama baabwe nga bavaayom okubeegaana mu lujjudde oluvannyuma lw’okwenyigira mu mivuyo gy’okukumpanyam ettaka ly’Abasikawutu. Wiiki ewedde, minisita omubeezi ow’ebyettaka Sam
Mayanja yalagira akulira akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka gw’Obwapulezidenti Brig. Gen. Henry Isoke okunoonyereza ku nsonga z’ettaka lino.