Nga baakava mu bikujjuko by’okuweza emyaka 50 mu endongo, Afrigo Band bawanda muliro.
Okusinziira ku baluwa gye baatadde ku mutimbagano, James Wasula omu ku batwala bandi eno yatade akaka.
Afrigo Band bw'efaanana.
Mbu omuntu yenna anaakwatibwa nga akwata bandi eno obutambi nga tafunye olukusa waakukifuuwa akizza munda.
Kino kitwaliramu n’abategesi b’ebivvulu kw’osa ne be bakozesa.
Ebaluwa eno era erambika bulungi emitendera egirina okuyitibwamu okufuna olukusa.
Muno mwe muli okuwandiikira abakulu mu bandi eno oba okubakubira essimu.