KYADDAAKI, Frank Ntambi yeetondedde maneja Jeff Kiwa.
Ku Lwokutaano, Ntambi yatadde akatambi ku mikutu gye egy’enjawulo nga yeetondera Jeff Kiwa olw’ebyo by’azze amwogerako bwe biba birina engeri yonna gye byamukosaamu.
Yategeezezza nti teyalina kigendererwa kwonoona linnya lye era amuwa ekitiibwa olw’ebyo by’akoze mu kisaawe ky’okuyimba n’amusaba okumusonyiwa.
Ababiri bano, babaddemu n’obuzibu obwatuusa n’okusibya Ntambi mu kkomera gye yayimbulwa ku kakalu ka kkooti gye buvuddeko.