MU kisaawe ky’okuyimba, Gen. Mega Dee yacaaka nnyo mu myaka gy’e 2000 era obumu ku buyimba bwe okuli; aka ‘Mwana muwala nga walaba okufumbirwa ekkadde..’ bukyanyumira abantu.
Ono nzaalwa y’omu Busoga wabula nga kati yagenda ku kyeyo. Yasinzidde mu America mu lukung'aana lwa UNNA n’ategeeza nga bw’awummudde okuyimba.
Gy’ali, yakuguka mu bintu ebirala by’ayagala okukola kwossa n’obusuubuzi.
Yayongeddeko nti n’emyaka gy’alina kati, tegikyamusobozesa kubeera mu ndongo kwe kusalawo akite.
Waliwo n’ebitambula nga bw’ayinza n’okukomawo ku butaka wakati mu bbugumu ly’ebyobufuzi.