OMUYIMBI Nandor Love asazeeko enviiri ng’akungubagira kitaawe eyafudde wiiki ewedde.
Ono eyayimba Kinnawulovu, yafiiriddwa kitaawe ku Lwokutaano abadde abeera e Kiwaatule.
Baamuziise ku Ssande e Luweero ku kyalo Nalwana. Nandor Love yatuukirizza akalombolombo k’omu Buganda nti omuntu afiiriddwa bazadde be akungubaga n’asalako n’enviiri.
Bangi babadde tebalowooza nti ayinza okukikola kuba abamuli okumpi bagamba nti enviiri ze, azikulizza ebbanga ate nga n’abantu abamu ennaku zino, akalombolombo k’okusalako enviiri, tebakyakatuukiriza nga bafiiriddwa abazadde.