Kasalabecca

Omuyimbi Karim Saava agudde mu bintu

AB'EKIBIINA ekiddukanya emizannyo gya olympics mu ggwanga ekimanyiddwa nga Uganda Olympic Committee and Commonwealth Games Association basse omukago n'omuyimbi Karim Saava Nsubuga okubeera Ambasada waabwe ebweru w'eggwanga.

Karim Saava ng'assa omukono ku ndagaano n'abakungu ba olypic Committee
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

AB'EKIBIINA ekiddukanya emizannyo gya olympics mu ggwanga ekimanyiddwa nga Uganda Olympic Committee and Commonwealth Games Association basse omukago n'omuyimbi Karim Saava Nsubuga okubeera Ambasada waabwe ebweru w'eggwanga.

Karim Saava ng'assa omukono ku ndagaano

Karim Saava ng'assa omukono ku ndagaano

Karim Saava Nsubuga mu kiseera kino awangaalira mu ggwanga lya America  mu kibuga Los Angeles e California. Saava aweereddwa obuvunanyizibwa bw'okutambuza enjiri y'emizannyo gya olympics naddala egyo egigenda okubeera  e Los Angeles, California mu United States 2028 ezaatuumiddwa LA-2028.

Saava agenda kukozesa enyimba ze, emikutu gye, n’obukulembeze obwenjawulo bwalina mu bannayuganda abawangaalira ebweru. 
Saava Karim awangudde Engule nyingi mu kutumbula eby’obuwangwa n’ennono ng’ayita mu kuyimba.