Kasalabecca

Abayimbi balumbye Bungereza mu Ug Fest

‘TUSIMBUDDE...’ omutegesi w’ebivvulu, Joseph Kiggundu owa Jose Jobs Link bwe yawaze ng’ayanjula enteekateeka z’ekivvulu kya Bannayuganda mu kibuga London ekya Bungereza.

Abayimbi balumbye Bungereza mu Ug Fest
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

‘TUSIMBUDDE...’ omutegesi w’ebivvulu, Joseph Kiggundu owa Jose Jobs Link bwe yawaze ng’ayanjula enteekateeka z’ekivvulu kya Bannayuganda mu kibuga London ekya Bungereza.

Kituumiddwa ‘UG Fest 2026’ kyakubaawo nga July 4, 2026 ku Newham Leisure mu London era nga kiwagiddwa Vision Group efulumya n’olupapula lwa Bukedde. 

Simon Maseruka (ku ddyo) n’abalala mu lukung’aana lwa bannamawulire ku ofiisi

Simon Maseruka (ku ddyo) n’abalala mu lukung’aana lwa bannamawulire ku ofiisi

Kiggundu asitudde abayimbi abasoba mu 10 era agamba nti ng’oggyeko okusanyusa Bannayuganda abali ku kyeyo, ssente ezinaava mu kivvulu kino zigenda kuyambako mu kuzimba ekisulu ky’abawala ku ssomero lya Lwanjiri Primary School mu disitulikiti y’e Kassanda.

 Akulembedde olukalala lw’abayimbi abagenda ye Cindy Sanyu ate Ssuuna Ben ng’ali ne Tony Mbaziira bagenda kukuba abadigize endongo y’ebinyaanyanyaanya. Abayimbi abalala abagenda kuliko; A Pass, Ray G, Omega 256, Stabua Natoro, Vyroota, Aidah Mugo n’abalala.

Ku lwa Vision Group, Simon Maseruka amanyiddwa nga Simo Omunene w’omu kibuga, yeebazizza Jobs Link olw’okusanyusanga Bannayuganda n’okuwagira abayimbi ng’ayita mu kutegeka ebivvulu n’okwatagananga ne Vision Group okulanga.

Tags:
Bayimbi
Kasalabecca
Ug Fest