Kasalabecca

Poliisi ekutte mmotoka gye batambulizaamu ennyama eteberezebwa okuba enzibe

Poliisi ekutte mmotoka gye batambulizaamu ennyama eteberezebwa okuba enzibe 

Poliisi ekutte mmotoka gye batambulizaamu ennyama eteberezebwa okuba enzibe
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

POLIISI ekutte mmotoka eteeberezebwa okutambulizibwamu ennyama y’ente enzibe. Ekutte abagiddemu n’ebaggalira nga byabaddewo ku ssaawa 7:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokubiri. Abaserikale baabadde balawuna ku luguudo lwa Yusuf Lule ne beekengera mmotoka eno ne bagikwata.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti ddereeva wa mmotoka eno ekika kya Toyota Noah nnamba UA526CL bwe yalengedde abaserikale kwe kusalawo okuvuga adduke wabula ng’ekubbo lye yakutte yabadde talimanyi.