Kasalabecca

Maneja wa Ava Peace ayingizzaawo ekyuma

ALLAN Kiwanuka, maneja w’omuyimbi Ava Peace omwaka agutandise na maanyi. Ayingizzaawo mmotoka ekika kya Benz n’ayogeza abantu obwama, e Munyonyo gy’atera okugivugira.

Allan Kiwa mu katono n'emmotoka
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ALLAN Kiwanuka, maneja w’omuyimbi Ava Peace omwaka agutandise na maanyi. Ayingizzaawo mmotoka ekika kya Benz n’ayogeza abantu obwama, e Munyonyo gy’atera okugivugira.

Ng’oggyeeko okukola n’abayimbi, Allan Kiwa yayingira n’ebyokugula ettaka. Muto wa Jeff Kiwa era yakolako ne Goodlyfe, Sheebah, AK47 era agamba akoledde nga mmotoka ekika kino emusaana.