BANNAKATEMBA ba Tumbeetu basanze akaseera akazibu okusanyusa ab’e Kawempe. Ku wiikendi baabadde ku bbaala ya Happy Boyz e Kawempe ku kabaga ka Uganda Waragi.
Tumbeetu yayingiddewo mu kaseera nga Arsenal esamba era baatandise okukola katemba ku bawagizi ba Arsenal nga bwe babayeeya nti tebasobola kuwangula Spurs gye baabadde battunka nayo.
Bakira boogera bino ng’abawagizi ba Arsenal bwe babaddiza omuliro kuba omupiira guno, Arsenal yamaze n’eguwangula ggoolo 4-1.
Oluvannyuma aba Tumbeetu beefuulidde Bannakawempe ne batandika kujerega bo. Edgar Kihumuro owa Uganda Waragi yasuubizza okutwala obubaga buno mu bifo by’eggwanga eby’enjawulo okwebaza abantu ababawagidde.