BAKAZANNYIRIZI ababiri; Madrat ne Chiko, beetondedde Bebe Cool ne mukyala we Zuena.
Gye buvuddeko, bano baayita ku mutimbagano ne bakuba ebituli mu bigambo bya Bebe Cool by’atera okwogera ne bamusaba nti
ku bintu ebimu, asirikangako.
Kino kyatabula Big Size Bebe Cool n’abasibira ekikookolo ku bivvulu ebimu. Bandiba nga bagenze okulaba nga basemba nakyo, ne basalawo okumwetondera mbu azze abayamba n’okubawagira nga bategese ebivvulu.
Nti era bazze bamunoonya okumusaba ekisonyiwo nga tebamulaba okutuusa lwe baamuguddeko ku kabaga akamu ne bakuba amaviivi abasonyiwe.