Kasalabecca

Kkooti ekakasizza abaalondeddwa mu SACCO y’abategesi b’ebivvulu

ABATEGESI b’ebivvulu abeegattira mu kibiina ky’obwegassi ekya Uganda Music Promoters SACCO, bakuba bulatti oluvannyuma lw’omulamuzi wa kkooti enkulu etaawuluza emisango gy’obusuubuzi mu Kampala, Patricia Asiimwe okugoba omusangoTonny Ssempijja ne David Mpora gwe baabaggulako.

Katongole eyalondeddwa, Abtex Musinguzi n’abalala
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABATEGESI b’ebivvulu abeegattira mu kibiina ky’obwegassi ekya Uganda Music Promoters SACCO, bakuba bulatti oluvannyuma lw’omulamuzi wa kkooti enkulu etaawuluza emisango gy’obusuubuzi mu Kampala, Patricia Asiimwe okugoba omusango
Tonny Ssempijja ne David Mpora gwe baabaggulako.

Ssempijja ne Mpora, baagenda mu kkooti eno nga basaba eyimirize olukiiko lwa SACCO eno olwali lutudde ku Pope Paul mu Ndeeba kwossa n’ebyali bigenda okukolebwamu ng’okulonda n’okuyingiza bammemba abajja nti byonna byali bikolebwa mu bumenyi bw’amateeka.

Omulamuzi Asiimwe wabula yakabatemye nti olukiiko lwaliwo mu mateeka era yakakasizza baalondeddwa ku bifo byabwe. Paul Katongole yalondeddwa ku bwassentebe bwa SACCO.