Kasalabecca

Fik Fameika bamukomezzaawo Fik

WALUKAGGA Shafik amanyiddwa nga Fik Fameika, mu mawanga g’Abawarabu kirabika talinaayo mikisa.

Fik
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

WALUKAGGA Shafik amanyiddwa nga Fik Fameika, mu mawanga g’Abawarabu kirabika talinaayo mikisa.
Ono yabadde alina okutalaagaebibuga okuli Dubai, Kuwait, Abudhabi nayeB BBn’alemesebwa. Ensonga yavudde ku biwandiiko bye okubeera nga tebitegeerekeka
bulungi okusinziira ku Deejay Bextar omu ku bategesi. Mbu amannya agali ku paasipooti gabadde tegafaanagana n’agali mu byuma era teyasobode kumalayo ‘Tour’ ye ne bamukomyawo. Yayimbyeko e Qatar wokka n’atasobola kweyongerayo walala. Bextar
agamba nti, guno si gwe mulundi ogusoose embeera eno okutuuka ku Fameika, mbu era lumu baamulinza ku kisaawe   e Dubai okumala ennaku bbiri ng’erinnya lye balyefaanaanyiriza ery’omuwala