Kasalabecca

Shakira Shakira akutudde ddiiru ne Nameere‘

OMUYIMBI Shakira Shakira asambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw’okukutula ddiiru n’omubaka Justin Nameere.

Shakira Shakira
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUYIMBI Shakira Shakira asambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw’okukutula ddiiru n’omubaka Justin Nameere.

Ddiiru eno ebalirirwamu obukadde bwa ssente, ya kwambaza mubaka ono naddala ku mikolo egimalayo. Omanyi Shakira eby’okuyimba agenda abivaako era yatandika n’edduuka mu kibuga eritunda engoye z’abakyala.

Shakira mbu ye yayambazizza omubaka ono ku mukolo gw’okulayiza Pulezidenti Museveni ogwabade e Kololo eggulo. Mbu era y’agenda n’okumwabaza ku lunaku naye lw’agenda okulayira ng’omubaka omukyala akiikirira Masaka mu Palamenti.

Ababeera okumpi ne Nameere bagamba nti, bukya asemberera Sipiika Anita Among ebintu byakyukira ddala. Mbu kati alinamu ku ttooke era emabegako awo yagula n’ennyumba e Kigo era n’akyusa n’emmotoka kati avuga