okuba n'amajambiya n'emiggo, balumbye ofiisi za SACCO e Bushenyi ne batemaatema omukuumi ne bamubbako n'emmundu.
Byabaddewo ku ssaawa nga 9 mu kiro ekyakeesezza Ssande. Baalumbye Kashenyi SACCO eKashenyi 11 Cell mu Ishaka division e Bushenyi, ne batema omukuumi wa Global Link Security Services, Aron Karamuzi, 28. Emmundu ekika kya Pump-action omwabadde amasasi asatu, nayo baagitutte ne bamuleka ng'ataawa. Omwogezi wa
poliisi e Bushenyi, Apollo Tayebwa yagambye nti, Karamuzi baamututte mu ddwaaliro lya KIU Teaching Hospital gy'afunira obujjanjabi ng'omuyiggo gw'abazigu bwe gukolebwa