OMUYIMBI Yung Mulo atuukiriza bye yeeyama. Ono, ku Lwomukaaga yayanjuddwa munne Brenda mu maka ga bazadde be e Kaleerwe - Mpereerwe. Yung Mulo n’omukyala
ono babadde bamaze bonna emyaka 8 era omwezi guno nga gutandika, yakyala ewa ssenga wa Brenda n’amusaba amutuuse mu bazadde. Ku mukolo gw’okwanjula, yategeezezza nti n’embaga ejja era Brenda yeebazizza olulenzi lwe okusuubiza n’atuukiriza n’agamba nti mugumu n’embaga ejja kubaawo.