OMUMBEJJA Mariam Ndagire ajjukidde abawagizi be. Okumala ebbanga, bazzenga bamubuuza ekimugaana okukola konsati abayimbiremu obuyimba bwe obukadde obwabanyumiranga nga tabawuuna.
Ku luno yeesowoddeyo, okutegeka ekivvulu oluvannyuma lw’emyaka 17 nga yasemba okubeera n’ekivvulu mu 2009. Agamba emyaka egiyise, obwanga yabuteeka nnyo ku ffirimu era alaba mu ekyo ekisaawe amaze okukakata nga kye kiseera okuddamu okukuba abantu omuziki mu December w’omwaka guno