Kasalabecca

‘Rachel K. alimu ente 300’

HAJATI Halimah Namakula, abaliridde muwala we, Rachel K. ng’azitowa ente 300 okuva mu musajja alimutwala. Namakula, ab’ehhanda n’emikwano baamukoledde akabaga akumukulisaayo e Mecca.

Rachel K. ne nnyina
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

HAJATI Halimah Namakula, abaliridde muwala we, Rachel K. ng’azitowa ente 300 okuva mu musajja alimutwala. Namakula, ab’ehhanda n’emikwano baamukoledde akabaga akumukulisaayo e Mecca.

Abamu ku bagenyi abaabadde ku kabaga ye Minisita Balaam Barugahara era mu  ngeri ey’olwali yategeezezza nga  bw’agenda okusaba Hajjati Halimah, amuwe muwala we Rachel K. agende  amutokoseze ettooke.

Wabula ne Namakula n’amwanukula nti omuntu yenna eyeewulira muwala we, alina okubeera omwetegefum okutwalayo ente 300. Nti era tatidde  bya muwala we kudibira ku luggya olw’ebintu by’ayagala kuba gyebali  ababisobola era bajja kulinda.