Kasalabecca

Ebbugumu litiisizza abayimbi abalina ekivvulu e Bungereza

Abayimbi okuli Cindy, Apass, Vyroota, Lilian Mbabazi, Omega256, Kasuku n’abalala bali mu kusattira olw’ebigenda mu maaso mu mawanga ga bulaaya naddala e Bungereza.

Ebbugumu litiisizza abayimbi abalina ekivvulu e Bungereza
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Abayimbi Bannayuganda basattira lwa bbugumu.

Abayimbi okuli Cindy, Apass, Vyroota, Lilian Mbabazi, Omega256, Kasuku n’abalala bali mu kusattira olw’ebigenda mu maaso mu mawanga ga bulaaya naddala e Bungereza.

Nga wabula ennaku embale okutuuka ku ekivvulu ekya UG festival ekyateekeddwa e Bungereza, tebannategeera oba banaalinya ennyonyi oba nedda.

Entabwe eva ku bbugumu eringi ennyo erisazeeko amawanga gaBbulaaya okuli Germany, Budaaki, Bufalansa ne Bungereza gye balina okuyimba.

Ekisinze okubennyamiza nti ebivvulu ebisinga mu mawanga ago biyimirizidwa olw’ebbugumu eringi.

Era abadigize abasinga abali baguze tiketi abategesi baazibaddiza okutuuka ng’embeera etereddemu.

Omutegesi w’ekivvulu kino, Jose Job Links akyakalambidde ng’agamba mukama ajja kubataasa ekivvulu kyabwe kibeereyo yadde nga abayimbi be yatimba balinamu okutya era bakyali Uganda tebannalinnya nnyonyi kwolekera Bungereza.

Tags:
Bbugumu
Kivvulu
Bungereza
Kutiisa