Kasalabecca

Cindy, Vyroota ne APass bali ku bunkenke

ABAYIMBI okuli; Cindy Ssanyu, APass, Vyroota, Lillian Mbabazi, Omega256 n’abalala bali ku bunkenke olw’ebigenda mu maaso mu mawanga ga Bulaaya naddala e Bungereza.

Cindy, Vyroota ne APass bali ku bunkenke
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAYIMBI okuli; Cindy Ssanyu, APass, Vyroota, Lillian Mbabazi, Omega256 n’abalala bali ku bunkenke olw’ebigenda mu maaso mu mawanga ga Bulaaya naddala e Bungereza. Nga July 4, balina ekivvulu ekya UG Festival e Bungereza kyokka ebbugumu lingi nnyo erisazeeko amawanga ga Bulaaya gye balina okuyimba. Ekibennyamiza kiri nti ebivvulu ebimu mu mawanga ago byayimiriziddwa olw’ebbugumu eringi. Omutegesi w’ekivvulu, Jose Job Links yeesize Katonda okubataasa, ebbugumu likendeere ekivvulu kibeeyo wadde abayimba tebannagenda.

Tags: