OMUYIMBI Jose Chameleone alambuludde ku bya DNA. Omuyimbi oyo agamba nti,
abaana be tebannakeberwa ku musaayi kumanya buzaale bwabwe kubanga abumanyi
bulungi nti baana be.
Abaana abaakebezebwa, tekuli ba Daniella Atim abataano, tekuli wa Dorotia ali e Bubirigi ne munnaabwe omulala omu ali e Toronto, Canada. Mu katambi ng’ayogera n’omusasi wa Bukedde, Chameleone yakoze DNA ku mwana omu owa Nayira. Mu yintavyu y’emu eno eyakoleddwa ku bbaala ya Torino ku Lwokutaano oluwedde, omuyimbi ono agamba nti, yakola DNA ku mwana oyo oluvannyuma lw’okumwesibako kyokka nga naye akimanyi nti si wuwe.
Emyaka gya 2000 nga gitandika, Chameleone alina omuwala, Nayira, gwe yakwata naye vidiyo y’olumu ku nnyimba ze. Nga wayise ebbanga, omuwala oyo yalaga bw’alina omwana wa Chamilli, ng’abasinga bwe bamuyita.
Enkaayana zaabalukawo kyokka ne ziggwa ng’abawagizi ba Chameleon tebamanyi bwe
byawedde. Naye DNA ya Paul Kafeero bwe yakoleddwa ng’aziikuddwa okumukebererako abaana be, Bukedde we yabuulizza Chameleone bwe yeetegese okulaba nga tebamuziikula nga bwe kyabadde ku muyimbi munne.
Wano we yabikkulidde ekyama n’agamba nti; “Ojjukira nti nalinako omutawaana gw’omukyala gwe bayita Nayira, eyali agamba nti ulina omwana, ne tugenda ne mu DNA? Era ebyavaayo bifaanaganako n’ebivudde mu bano.”
Okufaanagana kwe yabadde ayogerako yabadde ategeeza n’eby’abaana ba Kafeero abaasuulwa DNA ng’agamba nti n’omwana wa Nayira, yavaayo nga si wuwe ne kiggwa. Kyokka kino atangaazizza nti teyakikola ku baana balala kubanga bo abeekakasa. Wano we yakubiririzza abayimbi ne basajja banne mu ggwanga okwetegekera embeera y’ebiyinza okuddirira nga bafudde, batwale omusaayi gwabwe guterekebwe ng’ogugwe bwe gwatwaliddwa e Wandegeya nga ssinga afa, buli akaayana bamukeberera ku ogwo.