OMUYIMBI Jean Peace Nakiyingi Mulugayo, atambula agaziwa oluvannyuma lw’okukola ekivvulu ne kikwatayo.
Kyabadde ku Hotel Africana mu Kampala. Jean Peace ng’era mukulu wa Paasita Justine Nabbosa, yategese ekivulu kino ng’aluubirirwa okusonda ssente okudduukirira abayizi abatalina mwasirizi ku ssomero lya Da Hope Nursery & P/S e Buyende.