PRISCA Nakandi, 19, eyavuganyizza mu mpaka za Miss Africulture Uganda, n’akwata ekyokubiri, akulembeddemu abavubuka okulwanirira obutonde bw’ensi n’obuwangwa. Ono era yavuganyizza ne mu mpaka z’obwannalulungi w’ebyobulambuzi ow’Essaza Kyaddondo 2026, n’awangulayo engule ya Miss Popularity ne Best Mobilizing Queen Kyaddondo.
Agamba nti, empaka z’azze yeetabamu ez’enjawulo, zimuwadde amaanyi n’okuzibuka amaaso eri obulungi bw’okukuuma obutonde bw’ensi n’abantu okwagala ennono zaabwe.