BAANABALENZI abalina talenti mu kuyimba, baleese akapya. Owori Emmanuel (yeeyita Money Bag mu kuyimba) ng’asoma P3 ku Young Elite Community School e Kasokoso, ne Phillip Opendi (Black Billionaire), ali mu P6, bakubye oluyimba lwe batuumye ‘Ne Gw’ozadde’ nga balukubidde mu kika kya Luga Flo.
Lubuulirira abantu obutasosola mu myaka, ng’omwana aliko eby’amagezi by’ayogera. Bano baaluganda wabula nnyabwe yafa era William Kaggwa gwe bamanyi nga ‘Coco Man’, yabasaba kitaabwe, akuze ekitone kyabwe.