Kasalabecca

Abaana abayimba ‘Luga Flo’ baleese akapya

BAANABALENZI abalina talenti mu kuyimba, baleese akapya. Owori Emmanuel (yeeyita Money Bag mu kuyimba) ng’asoma P3 ku Young Elite Community School e Kasokoso, ne Phillip Opendi (Black Billionaire), ali mu P6, bakubye oluyimba lwe batuumye ‘Ne Gw’ozadde’ nga balukubidde mu kika kya Luga Flo.

Emma ne Phillip, bayimbi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BAANABALENZI abalina talenti mu kuyimba, baleese akapya. Owori Emmanuel (yeeyita Money Bag mu kuyimba) ng’asoma P3 ku Young Elite Community School e Kasokoso, ne Phillip Opendi (Black Billionaire), ali mu P6, bakubye oluyimba lwe batuumye ‘Ne Gw’ozadde’ nga balukubidde mu kika kya Luga Flo.

Lubuulirira abantu obutasosola mu myaka, ng’omwana aliko eby’amagezi by’ayogera. Bano baaluganda wabula nnyabwe yafa era William Kaggwa gwe bamanyi nga ‘Coco Man’, yabasaba kitaabwe, akuze ekitone kyabwe.

Basinziira mu Elite Performers e Namboole, okulaga talenti nga kati balina ennyimba bbiri, bazina amazima, okuyimba ku bubaga mu nnaku za wiikendi nga tebali ku ssomero era basaba obuwagizi bwa Bannayuganda

Tags: