Kasalabecca

Yoyo atangaazizza ku ssente ezaasasuddwa abayimbi

NG’ABANYUMIRWA myuziki bakyewuunaganya engeri abayimbi bwe baafuna mu nnyimba zaabwe omwaka oguwedde, Martin Nkoyooyo amanyiddwa nga Yoyo ow’ekibiina kya UPRS akkaatirizza nti, bonna abaatuukiriza ebisaanyizo, baafunye omugabo gwabwe.

Yoyo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

NG’ABANYUMIRWA myuziki bakyewuunaganya engeri abayimbi bwe baafuna mu nnyimba zaabwe omwaka oguwedde, Martin Nkoyooyo amanyiddwa nga Yoyo ow’ekibiina kya UPRS akkaatirizza nti, bonna abaatuukiriza ebisaanyizo, baafunye omugabo gwabwe.
Yoyo, akulira Uganda Performing Rights Society (UPRS), yayanjudde nti, omwaka oguwedde, obukadde 216 bwe baakung’aanyizibwa mu nnyimba n’ebiyiiye bya bannabitone abeewandiisa mu kibiina kino era ze baabagabanyizza.

Kigambibwa nti, eyafunye ennyingi, ali wakati wa bukadde bubiri n’obusatu, kyokka eriyo waliyo n’abaafunye 2,000/-. Abaasinze okufuna ennyingi kuliko; Afrigo Band, Jose Chameleone ne Eddie Kenzo.
Yoyo agamba nti, omuyimbi okugabana ku musimbi guno, alina okuba mmemba omujjuvu mu UPRS eyasasula ssente ezisasulwa ayingira 50,000/- era nga n’ennyimba ze, yaziteekayo ku ‘database’ y’ekitongole.
Ssente zino zikung’aanyizibwa okuva mu bifo ebirina layisinsi era nga bisasula okukozesa myuziki n’ebiyiiye ebirala. Yoyo agamba nti, waliwo omugabo ogwasigadde mu kibiina nga guno gugenda kukola ku butakkaanya bw’abayimbi abalina ‘kolabo’ naye nga bakaayana ku bwannannyini.
Kenzo, eky’okuba nga si mumativu na ssente ze yafunye, tekyamulobedde kukuutira bayimbi banne kukola myuziki omulungi basobole okufunamu

Tags: