EBIRALA bizuuse ku bulwadde obuluma Hajjati Stecia Mayanja. Ono, akyali mu ddwaaliro lya Nakasero gy’akyajjanjabirwa okuva ku Mmande, lwe yaddusiddwaayo ng’embeera mbi.
Maneja we, Lawrence Ssekimpi amanyiddwa nga Sir Lawrence, ye yamututteyo era agamba nti, baamutuusizza mu ddwaaliro ng’embeera teyeeyagaza wabula kati atereddemu.
“Yabadde tasobola kwogera wabula kati avaamu eddoboozi nga n’obulumi bw’omutwe bwakkakkanyeemu,” Sir Lawerence bwe yategeezezza, n’ayongerako nti, abasawo bakyamwekebejja okuzuula ekimuluma.
Wiiki ewedde, Stecia yabadde n’omukolo gw’okwanjula kwa muwala we kyokka maneja agamba nti, yagugendamu ng’alimu olusujjasujja ate ne yeetawula nnyo.
AMAZE NE PULEESA EMYAKA 1O
Maneja we yayongeddeko nti, Stecia amaze emyaka egiri mu 10, ng’atawaanyizibwa obulwadde bwa puleesa era waliwo lwe byatabuka n’addusibwa mu ddwaaliro e Nakasero. Ku olwo, abasawo baamusindika Canada, okufuna obujjanjabi obusingawo era gye yagenda ne bamujjanjaba.
Bwe yali eyo n’awona, yatandika okukuba ekyeyo kye yeekokkola oluvannyuma n’akomawo kuno ng’akiwanda lulusu. Omwaka oguwedde, yakola ekivvulu ku Serena nga ne mu kunoonya obululu Obwapulezidenti, yayimbira nnyo mu nkung’aana. Yali alondeddwa ku bwapulezidenti bw’ekibiina kya National Peasants’ Party oluvannyuma n’agobwa. Lawrence agamba nti, obulwadde obutawaanya omuyimbi, bubadde butambulira nnyo ku puleesa