BIG Size Bebe Cool, ayongedde okuwanika ebbango. Ageesigika galaga nga bw’agenda okusenguka e Kiwatule gy’abadde amaze ebbanga ng’abeera ne ffamire ye.
Ensonga emusengula, si mabanja ga bbanka oba nti ali mu ntobazzi, ekitongole kya NEMA kimugobyewo wabula yazimbye amaka amatiribona e Bwebajja ku lw’e Ntebe mu baloodi.
N’eya Bebe, yagisiize langi njeru n’agissaako empagi mu maaso gaayo ng’era State House bw’eba. Era waliwo abagamba nti y’ensonga lwaki, Bebe Cool mu luyimba lwe olupya olwa ‘Kakebere’ yayimbye ku muyimbi omu e Busaabala mu engeri y’okumujereegerera mbu yazimba mu ‘Ghetto’ n’olutobazzi era yeetaaga kusendawo.
Ennyumba ya Bebe, ateekateeka okugiyingira omwaka gunonga tegunnaggwaako era y’emu kw’ezo ezigenda okumenyawo ez’abayimbi abalala ezibaddewo nga y’esinga ebbeeyi n’obunene.