BANDI ya Levites of The State, yeesowoddeyo okulaga talenti mu kukuba layivu. Dulya Ritah Martha agikulira agamba nti yatandikibwa mwaka guwedde nga kati erina abayimba 15.
Jean Peace, y’omu ku bayimbi baayo era yeewaana nti bafulumya ennyimba eziri ku mutindo nga; ‘One Nation, One People’ olwogera ku bumu, okwagaliza n’okusonyiwagana. Balina ennyimba eziwerako nga zino basinga kuziyimba layivu ku siteegi naddala ku mikolo kwe baba bayitiddwa. Omuyima wa bandi eno ye, Hon. Mary Begumisa, eyaliko omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Ssembabule