Kasalabecca

Chamilli atandise okutambula ne nnyina buli w'alaga era ku ye kw'afiira!

Ono yatandiseewo enkola, ey’okutambula naye era bwe bumu ku bukwakkulizo bapulomoota abaagala okumupangisa bwe balina okutuukiriza ku bivvulu ebirimu okulinnya ennyonyi.

Chamilli atandise okutambula ne nnyina buli w'alaga era ku ye kw'afiira!
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

ENKOLAGANA y’omuyimbi Jose Chameleone ne maama we Prossy Mayanja nkwafu.

Ono yatandiseewo enkola, ey’okutambula naye era bwe bumu ku bukwakkulizo bapulomoota abaagala okumupangisa bwe balina okutuukiriza ku bivvulu ebirimu okulinnya ennyonyi.

Pulomoota eyasoose okulugwamu ye Richmond okuva e Bungereza. Ono yabadde ategese Jose Chameleone ne Afrigo Band e Bungereza ku New Ham Leisure Centre omwezi guno naye eza tiketi ya maama wa Chamilli ne zimulemerera era ekivvulu, Chamilli n’akibuukamu.

Chamilli azze alinnyisa omutindo, waliwo ekiseera ng’abayimbi bakyayimbira emitwalo 30, ye yassaawo ‘levo’ ng’atalina kakadde ka nsimbi, tamupangisa.

Ennaku zino, ayimbira bukadde na bukadde bwa nsimbi Jjuuzi, yatandika okutambula ne baganda be okuli; Weasel ne Pallaso nga bw’omupangisa, bano nabo obasuubira era waliwo lwe yasaba ssente, ng’omuwendo gw’ensimbi, nabo ababaliddeko. Wabula kino tekyalwawo, anti kati, osobola okumupangisa nga tali na baganda be.

Tags:
Kasalabecca
Kukwata
Maama
Kutambula
Chamilli
Nnyina
Kulaga
Kufa