Kasalabecca

Eyawangula empaka za Miss Bukedde awangudde ez'okuyimba e Tanzania

PRAISE Wisdom eyawangula engule y’obwa Miss Bukedde 2024 sizoni ey’okusatu, awangudde empaka z’okuyimba eza CRDB Bongo Star Search 16 ezaategekeddwa mu Tanzania.

Eyawangula empaka za Miss Bukedde awangudde ez'okuyimba e Tanzania
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

PRAISE Wisdom eyawangula engule y’obwa Miss Bukedde 2024 sizoni ey’okusatu, awangudde empaka z’okuyimba eza CRDB Bongo Star Search 16 ezaategekeddwa mu Tanzania.

 

Praise Wisdom, yakwasiddwa emmotoka kapyata ne ssente za Tanzania obukadde 50 (mu za Uganda obukadde 70).

Praise lwe yali ayolekera e Tanzania

Praise lwe yali ayolekera e Tanzania

Empaka z’akamalirizo zaabaddewo ku Lwamukaaga nga Wisdom yabadde avuganya n’abayimbi abalala 70 okuva mu mawanga ga Africa ag’enjawulo.

 

Okwetaba mu mpaka zino, Praise yasooka kwetaba mu kusunsulwamu okwali e Kenya n’ayitamu okukwatira Uganda bendera mu mpaka zino.

 

Abayimbi abalala b’abadde avuganya nabo babadde bava mu mawanga okuli; Congo, Kenya, Tanzania, Burundi, Rwanda n’awalala.

 

Oluvannyuma lw’okusunsulwa baabayita okuyingira mu kkampu era bazze babasunsula okumala emyezi esatu nga babadde mu kibuga Dar es Salaam mu Tanzania.

 

Empaka ez’akamalirizo zaabaddewo ku Lwomukaga nga Praise, yasoose kuvuganya n’abalala 8 nga baavuganyizza ku nnyimba ssatu buli omu. Ku mutendera guno baasuddeko babiri abana ne bayitawo okwabadde ne Praise.

 

Ku bana abaasigaddeko Praise omutindo gwe yayolesezza gwalese abasazi b’empaka n’abalabi bawuniikiridde era ne bamulangira ku ky’obuwanguzi.

 

Praise yayimbye ennyimba okwabadde; Goodness of God, Vulindela ne Standup nga yayolesezza eddoboozi ery’amaanyi n’okukozesa siteegi ebyalese abasazi b’empaka n’abantu nga bamunyeenyeza mutwe.

 

Taata wa Praise, Noah Kibuuka yasiimye Bukedde TV ne Vision Group okutwaliza awamu, olw’okwagala omwana we era nga be baamuyamba okuzuula ekitone kye bwe baamuwa omukisa okwetaba mu mpaka za Miss Bukedde 2024 era n’aziwangula.

 

Ono era yeebazizza abategesi b’empaka abaabadde ebeerufu na buli muntu eyabadde ayagaliza Praise ebirungi.

Tags:
Praise Wisdom
Tanzania
Kuyimba