Kasalabecca

Miss Bukedde wa 2024 awangudde empaka endala ez'okuzuula ekitone eTanzania

Miss Bukedde wa 2024 awangudde empaka endala ez'okuzuula ekitone e Tanzania

Praise Wisdom ng'ayimba
By: Patrick Kibirango, Journalist @New Vision

PRAISE WISDOM eyawangula engule y’obwa Miss Bukedde 2024 sizoni ey’okusatu, awangudde empaka z’okuyimba eza CRDB Bongo Star Search 16 ez’ategekeddwa mu ggwanga lya Tanzania.
Praise Wisodom, yakwasiddwa emmotoka kyapata ne ssente za Tanzania obukadde 50 mu za Uganda ziba ze bukadde 70. 

Empaka z’akamalirizo zabaddewo Olw'omukaaga nga mu mpaka zino yabadde avuganya n’abayimbi abalala 70 okua mu mawanga g’Afrika ag’enjawulo.
Okwetaba mu mpaka zino, Praise yasooka kwetaba mu kusunsulwamu okwali e Kenya gye baabasunsulira era nayitamu okukwata bendera ya Uganda mu mpaka zino.

Praise Wisdom ng'ayimba

Praise Wisdom ng'ayimba


Abayimbi abalala babadde avuganya nabo babadde bava mu mawanga okuli Congo, Kenya, Tanzania, Burundi, Rwanda n’awalala.
Oluvannyuma lw’okusunsulwa baabayita okuyingira mu kampu era bazze babasunsula nga zimaze emyezi esatu nga ziyindira e Dar es Salaam mu Tazania.
Empaka ez’akamalirizo z’abaddewo ku Lwomukaga nga Praise. Yasoose kuvunya n’abalala 8 ne bavuganya nga baabawadde okuyimba enyimba 3, buli omu era nga kumutendeera guno baasuddeko 2, abana ne bayitawo okwabadde ne Praise.

Emmotoka eyaweereddwa Praise Wisdom

Emmotoka eyaweereddwa Praise Wisdom


 Ku bana abaasigaddeko Praise omutindo gweyayolesezza gwalese abasazi b’empaka n’abalabi bawuniikiridde era ne bamulangira ku ky’obuwanguzi.
Praise yayimbye enyimba okwabadde Goodness of God, Vulindela ne Standup nga yayoresezza eddoboozi ery’amanyi n’okukozesa siteegi eby’alese abasazi b’empaka n’abantu ababadde balaba empaka nga bamunyeenyeza mutwe.

Prais Wisdom

Prais Wisdom


Taat awa Praise yasiimye Bukedde TV ne Vision Group okutwaliza awamu, olw’okwagala omwana we era nga beebamuyamba okuzuula ekitone kye bwe baamuwa omukisa okwetaba mu mpaka za Miss Bukedde 2024 era n’azawangula.
Ono era yeebazizza abategesi b’empaka abaabadde ebeerufu nabuli muntu yenna eyabadde ayagaliza Praise ebirungi.
Tags: