OMUYIMBI Alfa Ssebunya amanyiddwa nga Mudra, yacaaka nnyo n’akayimba aka muyaayu mu 2022.
Ku kayimba ka Muyaayu akaamutunda, yayimbayo n’aka, Balo Balo, Tokola Error nabwo obwanyumira abantu. Kati akuba ‘Promo Party’ wadde ng’abamu ku bawagizi be bamwebuuza.
Ku kabaga, yeefuumudde n’ayimba ennyimba eziwera okuli; okuli, Onkosa, The Best, Tokola Error, Balo Balo, Ayi, Kimuli Kyange bwe yamaze n’asaba ‘abaana’ okumanya ekyabatwala ku ssomero wadde ng’abaafunye ku budde okwesanyusaamu ne booca n’emicomo.