Kasalabecca

Muwala wa Joanita Kawalya amutenderezza olw'omukwano gw'alina gye bali

MATILDA Whitney Nakayima, muwala w’omuyimbi Joanitah Kawalya owa Afrigo Band atenderezza nnyina olw’omukwano gw’alina eri abaana be.

Muwala wa Joanita Kawalya amutenderezza olw'omukwano gw'alina gye bali
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

MATILDA Whitney Nakayima, muwala w’omuyimbi Joanitah Kawalya owa Afrigo Band atenderezza nnyina olw’omukwano gw’alina eri abaana be.

Bano twabaguddeko ku kisaawe e Ntebe nga Nakayima awerekedde nnyina eyabadde agenda e Bungereza okuyimba wiikendi eno.

Kawalya olwamubuuzizza lwaki asinga nnyo kutambula ne Nakayima ng’alinga ye mwana yekka gw’alina, yategeezezza nti abaana be bonna abagaala kye kimu nti naye ono y’alinga ayagala eby’okuyimba.

Nakayima agamba nti olw’okumukuza obulungi n’okumwagaliza okuyimba essaawa eno awulira ng’asobola okuyimba nga nnyina abantu ne banyumirwa.

Tags:
Joanita Kawalya
Matildah
Muwala
Kutendereza
Mukwano