OMUGOLE wa ‘honalebo’ Dr. Fred Mukasa Mbidde azadde. Mbidde, yakiikirirako Uganda mu Palamenti ya East Afrika era y’amyuka pulezidenti wa DP. Yakuba omuwala Phiona Nayebale embaga mu 2023.

Mbidde Ne Phiona
Abayimbi okuli; Bebe Cool, Chameleone ne Nina Roz baalanyusa abantu. Ababadde beebuuza ebibala by’embaga, bimaze ne bimeruka era Phiona yazadde muwala.
Nga musanyufu bya nsusso, Mbidde yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa X ne yeebaza omugole okuyita mu lutalo lw’okuzaala era n’amusuubiza nti, okufa kwe kulibaawukanya. Omwana eyazaaliddwa, yamuwadde erinnya lya Shatsi Nyonyozi Mbidde.