Ng’oggyeeko okulungiya awaka, wooteeri n’ebifo omukolerwa, ebimuli bikola kinene mu kutumbula embeera y’obulamu bw’abantu ababiriraana. Okugeza bimalako situleesi, okulongoosa empewo gye tussa n’okukwata enfuufu eyandisibidde mu mibiri gyaffe.
Zino ze zimu ku nsonga abakugu mu butonde bw’ensi ze bawa nga bakunga abantu okuteeka ebimuli oba ebimera mu maka gaabwe ne mu bifo gye bakolera ng’obutale, amaduuka ne woofiisi.

Betty Mugoya (ku ddyo) omu ku batandisi ba UTPA
Ku mulundi guno, omwoleso gwayindidde ku National theater mu Kampala ku wiikendi wansi w’omulamwa; Celebrating plants that collect, conserve and restore Uganda’s water. Ekivvuunulwa; okujaguza ebimera ebikungaanya n’okulongoosa amazzi ga Uganda.
Omwoleso ogw’ennaku ennya gwajjumbiddwa abaana b’amasomero, abakyala n’abaami abaagala ebimera n’abalwanirira obutonde bw’ensi.

Abaana nabo baabaddeyo

Omutunzi w'ebimuli Rehemah Namara owa Remmie Blooms (wakati) ne bakasitoma