Kasalabecca

Bajjumbidde omwoleso gw’ebimuli n’obutonde

Ng’oggyeeko okulungiya awaka, wooteeri n’ebifo omukolerwa, ebimuli bikola kinene mu kutumbula embeera y’obulamu bw’abantu ababiriraana. Okugeza bimalako situleesi, okulongoosa empewo gye tussa n’okukwata enfuufu eyandisibidde mu mibiri gyaffe.

Munnamawulire Mildred Tuhaise ng'asomesa ku bibala obivaamu ssente
By: Ritah Mukasa, Journalist @New Vision

Ng’oggyeeko okulungiya awaka, wooteeri n’ebifo omukolerwa, ebimuli bikola kinene mu kutumbula embeera y’obulamu bw’abantu ababiriraana. Okugeza bimalako situleesi, okulongoosa empewo gye tussa n’okukwata enfuufu eyandisibidde mu mibiri gyaffe.

Zino ze zimu ku nsonga abakugu mu butonde bw’ensi ze bawa nga bakunga abantu okuteeka ebimuli oba ebimera mu maka gaabwe ne mu bifo gye bakolera ng’obutale, amaduuka ne woofiisi.

Betty Mugoya (ku ddyo) omu ku batandisi ba UTPA

Betty Mugoya (ku ddyo) omu ku batandisi ba UTPA

Era mu ngeri y’emu, mu kaweefube w’okwagazisa abantu ebimuli n’obutonde bw’ensi, ab’ekibiina kya United Tropical Planters Association (UTPA) buli mwaka bategeka emyoleso gy’ebimuli n’ebintu ebyenjawulo ebikozesebwa mu kuwunda awaka.

Ku mulundi guno, omwoleso gwayindidde ku National theater mu Kampala ku wiikendi wansi w’omulamwa; Celebrating plants that collect, conserve and restore Uganda’s water. Ekivvuunulwa; okujaguza ebimera ebikungaanya n’okulongoosa amazzi ga Uganda.
Omwoleso ogw’ennaku ennya gwajjumbiddwa abaana b’amasomero, abakyala n’abaami abaagala ebimera n’abalwanirira obutonde bw’ensi.

Abaana nabo baabaddeyo

Abaana nabo baabaddeyo

Era abalimi b’ebimuli n’ababitunda abaasusse mu 60 baayolesezza ebimuli ebyenjawulo ebikulira mu ttaka, mu mpewo ne mu mazzi. 
Omwoleso gwawagiddwa aba Uganda National Culture Centre (UNCC), Quicket, CBS FM, Lukango Tree conservancy ne Nina interiors.  

Omutunzi w'ebimuli Rehemah Namara owa Remmie Blooms (wakati) ne bakasitoma

Omutunzi w'ebimuli Rehemah Namara owa Remmie Blooms (wakati) ne bakasitoma

Betty Mugoya, omu ku batandisi ba UTPA agamba nti okuva mu 2008, ekibiina kiri mu kaweefube w’okwagazisa bannayuganda ebimuli n’obutonde bw’ensi era abantu bangi kati balima ebimera mu maka gaabwe okuli enva endiirwa n’ebirungo by’omu caayi n’emmere. Ssente eziva mu myoleso baziwaayo okuyamba abaana abali mu bwetaavu.
Tags: