Kasalabecca

Yoyo akyannyonnyola

MARTIN Nkooyoyo amanyiddwa nga Yoyo, ye ssentebe  wa Uganda PerformingRights Society (UPRS), abasolooz  ssente z’abayimbi  mu nnyimba  zaabwe, avuddemu omwasi ku kwemulugunya kw’abayimbi.

Yoyo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MARTIN Nkooyoyo amanyiddwa nga Yoyo, ye ssentebe  wa Uganda Performing
Rights Society (UPRS), abasolooz  ssente z’abayimbi  mu nnyimba  zaabwe, avuddemu omwasi ku kwemulugunya kw’abayimbi. Ono yabadde n’olukiiko wiiki ewedde n’ategeeza nti okwemulugunya kw’abayimbi olwa ssente entono ze  baafuna, naye akulaba era alumwa ng’omuyimbi. Agamba nti ekisinga okuleetawo kino, be bantu abakozesa myuziki w’abayimbi nga tebaagala kusasula UPRS. Agamba  nti omwaka guno, essira waakulissa ku kya kusomesa bantu, obulungi obuli mu kusasulira myuziki  w’abayimbi kyongeze ku nsimbi ze basolooza. Bino we bijjidde nga ne Spice Diana yaakeemulugunya ku kakadde akamu n’ekitundu ke baamusasudde. Spice agamba nti wadde zaabadde ntono naye zisingako 20,000/- ze yafuna emabegako

Tags: